Isaiah 57

1 aAbantu abatuukirivu bazikirira,
naye tewali akirowoozako n’akatono.
Abantu abeewaddeyo eri Katonda
batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.
Kubanga omutuukirivu aggyibwawo
olw’akabi akagenda okujja.
2 bAyingira mu mirembe
n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,
ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

3 c“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu
ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4Muzannyira ku ani?
Ani gwe mukongoola
ne mumusoomooza?
Temuli baana ba bujeemu,
ezzadde eryobulimba?
5 dMwaka ne mwegombera wansi w’emiti
na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 eBakatonda bo ge mayinja amaweweevu
Amayinja amaweweevu gaakozesebwanga mu kusinza balubaale
gosinziza mu biwonvu,
abo be babo, obusika bwo;
abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa
era n’ebiweebwayo eby’empeke.
Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 gMwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 hEmabega w’enzigi zammwe
we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 iNe weekuba kalifuuwa omuyitirivu
ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
kumpi batuuke n’emagombe.
10 jAmakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo
naye teweegamba nako nti,
‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’
Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.

11 k“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,
n’olyoka olimba,
nze n’otonzijukira n’akatono
wadde okundowoozaako?
Olw’okubanga nsirise n’esikunyega
ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 lNnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,
naye tebigenda kukugasa.
13 mBw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,
leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;
naye empewo eribatwala,
omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.
Naye oyo anfuula ekiddukiro kye
alirya ensi
era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”

Ekisa eri Abeenenya

14 nEra kiryogerwa nti,

“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!
Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 oKubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
16 pKubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 qOlw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 rNalaba by’akola, naye ndimuwonya.
Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 sMirembe, era mirembe,
eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,
era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 tNaye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 u“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
Copyright information for LugEEEE